Saturday, July 27News That Matters

Ssenga:Kola binno ow’omerwe munno.

Munno okufuna embalig mu mukwano, emirundi egisinga kiva ku nsobi z’okola oba obunafu bw’olesa ate n’obiremerako.

Mulimu abakola obwenzi mu mbeera y’okwesasuza.

Abalala bakola obwenzi mu ngeri y’okwagala okwetaasa ow’embeera ss nga waliwo ababukola nga omuze nga bo tebasobola kutuulira awo nga tebabawuubye.

Tukuleetedde 12 by’olemerako ne bisindika munno mu bwenzi.

Obutamatiza munno ndonga z’ekitanda.

Abakyala bangi beemulugunya nnyo ng’abasajja baabwe bwe batabamatiza mu nsiitaano y’omukitanda.

Abamu nti kiva ku kulemwa kubateekateeka nga batandika ensiitaano ate abalala nti abasajja baabwe babeera nga nkoko nga oluba okutandika kitwala obudakiika nga buubwo nga baamazeemu dda akagoba olwo abakazi ne basigaza ejjakirizi.

Edith Mukisa abuulirira abafumbo n’abaagalana agamba nti abasajja banji tebamanyi kuteekateeka baagalwa baabwe nga bo olubeera okugalula baagala kulumba essaawa eyo olwo ne baleka bannaabwe nga tebamatidde oba okubaleka nga babalumizza.

Wano Mukisa w’asabira abasajja okubeeranga abagumiikiriza okuteekateeka bannaabwe basobole okutambulira awamu.

Enkola y’okuyimirizamu eyinza okukuwangaaza okumala eddakiika nga 30 okutuuka ku ssaawa naye olina okugitegeeza ku munno nga ekiseera bwe kituuka okumugamba asiriseemu nga naye asirisa.

Obutafaayo ku byetaago bya munno.

Waliwo munno lw’abaako by’akusaba okumugulira oba okumukolera kyokka n’otonyega oba okuteebereza nti ssente olina omulala gw’ozisaasaanyizaako, batera okwekyawa ne basalawo okwetetenkanya nga abakyala.

Wabula Mukisa akubiriza abakyaka okubeera y’ebyenfuna eyongedde okukakuba mu kiseera kino kuba oluusi omsajja abeera atunuulidde ebyetaago ebitalinda nga emmere, ssukaali , Amanda , fiizi z’abaana, lenti bwe mubeera mu kipangisa n’ebirala.

Okesasuza.

Okwesasuza kusinga kweyolekera mu nsonga za bwenzi.

Mulimu abantu nga omu bw’amanya nti munne ayenda nga naye akola kyekimu.

Ssenga Mukisa agamba nti mulimu abakola obwenzi ate ne bakiraga abaagalwa baabwe olwo munne bw’adda awaka n’alaga nti akooye nnyo oba obuteewulira bulungi nga munne amugambyeko okubaako kye beekolera Mukisa agamba nti omusajja bw’abeera n’omukazi omulala ng’amanyiddwa, buli omusajja lw’agenda ew’omulala, ono asigadde awaka oluma bw’atandika okwefumintiriza kimuleetera okuwulira nga gwe balekeredde era enkola eno bwe yeeyongera ayinza okutendewalirwa naye n’afunangayo amukalakata.

Olusirika.

Abakyala be basing okukola olusirika bwe wabaawo ekibanyiizizza oba nga balina kye basabye ne batakibakoler.

Buli lw’osirika nga tonyega munno nga n’okwandibadde okukukwatako mu kitanda n’omumansula eri kimunyiga mu mutima okukkakkana ng’anoonyezzaayo amuddaabiriza.

Okumalako muno emirembe.

Waliwo abantu abamalako bannaabwe emirembe nga bayita mu kwemulugunya okutatadde oba okusojja bannaabwe mu kino ne kiri.

Abalala embeera eno bagireeta olw’oklemera ku kintu.

Obutatwalako munno out oba okudigida.

Mulimu abasajja nga bwe gutuuka okugenda awutu okudigida baenda na mikwano gyabwe abalala oba ba ‘side dish’.

Obukambwe obususse

Waliwo abantu abamu nga n’abaagalwa baabwe oluusi babatya.

Buli lw’obeera omukambwe oluusi munno alemererwa okukwewa, n’okukutegeeza ekimuli ku mutima.

Abamu bwe kibayitirirako oluusi bafuna gye baddukira okubaddaabiriza omutima ne mu mukwano.

Okunywa ennyo omwenge ne sigala.

Waliwo abantu abatagwa kukiika mu bbaala nga tayinza kumalako wiiki nga tagenzeeyo waakiri emirundi nga esatu.

Mukisa agamba nti munno bw’abeera anywa omwenge oba ssigala nga ggwe tobinywa, birina engeri gye bimuleetera okuwunya obulala ne kimalako munne emirembe.

Emirimu oluusi gireetera abaagala omu okubeera awalala ku wa munne.

Obuzibu tebutera kuva mu kubeera nti munno ali walako ne wooli, naye obutawuliziganya.

Abantu abamu kiyinza okubatwalira emyezi oba myaka nga tebasisinkanye oba okuwuliziganya ku ssim.

Kino kiyinza okuleetera munno okutendewalira n’afuna amubeesabeesa.

Kibeera kirungi okuwuliziganya ne munno kyenkana buli lunaku ate nga bw’omugumya n’obugambo obuzzamu amaanyi.

Obutafaayo ku munno.

Waliwo ababeera mu mukwano ng tabafiirayo ddala ku bannaabwe nga kiyinza okubatwalira wiiki eziwerako aba emyezi nga ebawulizza bibakwatako.

Bano baleetera abaagalwa baabwe okuwulira ng’abasuuliddwawo era ekiddirira kutetenkanya bwe bayinza okufuna abafaako oba okubabudaabuda w’otali.

Okulemwa okuwa munno ekitiibwa n’okumwebaza.

Mulimu ababeera mu mukwano kyokka ng’omu tawa munne kitiibwa nga ne bw’abaaba aliko ky’omugamba amuboggokera buboggokezi nga katabani ke oba kawala ke.

Abalala bo babeera tebasiima munne ky’akoze.

Munno wadd kimukakatako okukulekera ez’akameeza oba okugula eby’awaka, kyoka buvunaanyizibwa okumwebaza oba okumuweereza ka Thanks ku zino watsapp ezaayala.

Agamba nti bw’oba tokikola munno n’afunayo amwebaza ng’awereekerezaako n’okufukamira ayinza obutasigala ku ggwe wekka.

Okubeera ennyo ku ssimu oba ku social media.

Abantu bafunye omuze gw’aokubeera ennyo ku ssimu nga bali ku watsapp, face book, twitter n’ebirala.

Mulimu n’abayingira obuliri ne basigala nga bibatwalidde obwongo.

Bino birina okubaako ekkomo ne munno n’pmuwa obudde awatali ekyo oyinza okwesanga ng’alina gy’ayitira nga ggwe akutunuulira butunnulira n’akuleka pkuwasi bwa social media.