Saturday, July 27News That Matters

Abakalamoja balumiliza abasirkale ba LDU okwenyigila mububi bwe ente nga bakozesa e Mundu.

Abakulembeze mubitundu bye eKalamoja balumiriza abasirikale ba egye elikuma byaalo abali mubitundu bino okwenyigira buterevu mulutalo lwo okuba ente ne emundu.

Bano okuvaayo kidiride abantu 17 okutibwa mu disitulikiti okuli eye Napaka ne Nabilatuk mubumbaganyi bwe  eMundu   mu banga lya sabitti biri. Abakulembeze bagamba nti abasirikale ba LDU banyigide mulutalo lwo okuba ebisolo kubanga bangi kubano bali mu muze guno wabula nebasa wansi emuntu kyoka oluvanyuma nebasaba pulesidenti okuyingira egye elikuma byaalo kubanga bali tebalina kyebakola.  Bano bagamba nti bano ate bekyusiriza mukiti nga mbaze nebatandika okutomya ebyaalo nga bakozesa emundu okunyaga ente zabanabwe kubyaalo.

Ssentebe wa disitulikiti ye Nabilatuk atutegezeza nti bulunaku abantu bangi  bafiirwa obulamu bwabwe muntalo zo okuba amagana ge ente wakti wa zidisitulikiti zino ebiri. Ono agamba nti ekibinja kya abantu bwe kizinda ekyaalo nekiba ente nga nebano bebabyeko naba basitula olutalo okukomyawo entezabwe ekiviirako obulamu bwa abantu  ente okulugenderamu.

Lokol ayongerako nti okuva bwe kwatta entebe ya distulikiti nga 19 omwezi oguyise abantu8 bebakafa ne ente 1000 nezibibwa. Ono alumiliza abasirikale abamu mu egye ekuma byaalo elya LDU okubera emabega wo obutabanguko buno oluvanyuma lwo okuwulira nti batekateka okubayimiriza okukola emirimo gyabwe mubitundu bino.

Lokol alumilizaq nti mukiro ekyakeesa  lwokubiri lwa wiiki ewede abasirkale ba LDU nga bali mubyambalo bya bwe  balumba  ebyaalo mu disitulikiti ye  ne babba ente ezisooba mu 200 nebazitwaala mu distulikiti ya Amudat.

“Ezimu ku mundu ezikozesebwa mubumbaganyi obukolebwa mu ditulikiti ye Napaka ne Nabilatuk zezimu ezikozesebwa aba LDU ate embera yeyongera

okubiwa omudumizi wa amagye go okutaka  Lt. Gen. Peter Elwelu bwe yalangilira nti ateekateeka okugoba aba Ldu bona abali ekalamoja olwokwengira muntalo ze ente” bwatyo bweyategezeza.

Abakulembeze bagamba nti ekisinga okubamalamu amanyi kwekuba nga  bangi kubali baava mububi bwe ente kubilagiro byo omukulembeze we eggwanga bakirizibwa okubawandisa mu gye ekuma byaalo oluvnyuma lwa abanono okwekubira enduulu ewa pulesidenti museveni ate nebadizibwa emundu. Kyoka mubisera bino bangi kuba sirkale bano basongedwamu enwe okwenyigira mubikolwa ebyo okuba ente ekyavirideko Gen. Elweru mu gwokusaatu gwo omwaka guno okuyisa ekiwandiko ekiyimiriza emirimo gya aba LDU mukalamoja.

Abatuuze mu magombolola okuli elya Nabilatuk ne Lorengechora mu district ye Nabilatuk bategeezeza nti obutali bwe simbu obuli mubakuma ddembe mukudisa bananyini nte eziba zinunudwa eri bananyizo nga osanga nga nti omuntu abibwa ente 40 ate nebamudiza 20 nga tewali kunyonyolwa kumalia baba tebalina kyebasigaza okujakoko nabo okulumba banunule entezabwe.

John paul Kodet ssentebe  wa ditulikiti ye  Napak agamba nti entalo ze ebisolo  mudistulikiti eno zizigamiza ebyobulunzi  mubitundu  nagamba nti abantu bangi baffiridwa obulamu bwabw emubutanwa.

Okusinzira kubakulembeza entalo zino zeyongende nga obulamu bwa abantu bangi bubugendedemu nebasaba gavumenti okuvaayo eze embera munteko.

Ye Joseph Balikudembe akulira ekibinja kya amagye ekyo okusatu  yategezeza nti  bamaze okuteka amagye agamala mu distulikiti zino ebiri eziru entalo okuba ente okulaba nga baza embera munteko era nalabula abatuuze okukomya okwenyigira muntalo zino.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *